Valentine's Day in Islam Ugandan Language | Olunaku lw'abagalana mubusiraamu
Valentine's Day in Islam into Ugandan Language | Olunaku lw'abagalana mubusiraamu
Olunaku lw'abagalana Mubusiraamu
Byawandikibwa:
Dr. Abudallah Bun Radhi Al Muayidy Al Shamury.
Nebivvunulwa:
Farooq Abdulnoor Ntanda.
Olunaku lw'abagalana Mubusiraamu
amatendo amluungi era amajjuvu ga
Allah nanyini buyinza, eyatonda eggulu nensi , natonderamu omuntu natamuleka
ttayo wabula yamutumira ababaka era namuteerawo amateeka g'alina okutambulirako
asobole okutuuka gyali mumaaso ge nga asiimidwa. Nzizaako okusaba ebyengera
nemirembe bibeere eri owekitiibwa omubaka Muhammad (s.a.w) oyo eyalafuubana
okulaba nga atuyigiriza ediini y'obusiraamu awamu ne baswahaba be n'abenyumba
ye naabo ababagoberera mukukola n'okulagirira obuluungi okutuusa Allah
lwalizingako ensi eno. Ameen.
obusiraamu diini ebuna buli kintu kyonna
era nga esaanira buli mulembe gwonna, nabwekityo kumulundi guno twagala tulabe
obusiraamu bwogera ki kulunaku lwabagalana (valentines day), okusookera ddala
tutekedwa okukimanya nti ennaku ezisinga ezikuzibwa zitwalibwa okubeera
nga obubonero bwenzikiriza, nga omuntu
yenna alina eddiini oba enzikiriza gy'akiririzaamu akuza ennaku zaayo, era
takuza naku ndala zitali zanzikiriza ye, era tusanidde okukimanya nti okuva
kumulamwa nobubuze birina amakubo era nga ekkubu lyobubuze eryangu
lyeryokufuula abatakiririza mu Allah okubeera
banfanfe baffe, era bwekuba nti okubafuula banfanfe baffe nakwo kulina
endagiriro,okubakoppa yendagiriro enyangu.
N'okubakoppa bwekuba nga nakwo kulina
omutwe, eky'okukuza ennaku zabwe gwemutwe gwakyo omukulu.
era ezimu kunnaku ez'agaanibwa mubusiraamu nga okuzikuza kukyase nyo
ensangi zino era ne zisaasanyizibwa nyo emikutu gyamawulire nekumutimbagano, lwe lunaku
lwabagalana (valentines day) mulufuuti fuuti. Olunaku olwo lwatumibwa erinya
eritali lyalwo, mumbeera yakuttirira, nakubuzabuuza, baalutuuma erinya eddungi
eryekitiibwa olwo basobole okusenda senda emitima gy'abantubalamu abakkakamu
gisobole okulukkiriza, balutuuma lunaku ''lwabagalana'' naye nga mubutuufu
lunaku lwakkumpanya nakukwenya kwenya nakukakkanya. Basasaanya obwononefu nga
babubisse mungoye ennungi ez'ekitiibwa, mwatu ateera nga eno nkola ya sitaani
okuva edda nedda. Allah yagiswaza mukitabo kye ekitukuvu ''qur'an'' era
nabikkula embeera zaayo eri abaddu be abakkiriza, nagamba kunkwe zaayo eri
kitaffe adamu ne nyaffe hawa
} وقاسمهما إني لكما لمن
الناصحين { surat al a'raaf 21.
Bwetyo sitaani bweyali nga esenda senda
adamu ne hawa balye ekibala Allah
kyeyabagaana '' yabalayirira nebamba nti mazima nze ndi mubuulirize era omuwi
wamagezi jemuli''.
ebwafaayo
byolunaku lwabagalana
jenvudde w'olunaku luno okusiinzira kubyafaayo biraga nti abasamize abalooma
baali bajaguza era nebakuza olunaku lwa nga 15/02 buli mwaka.
Era olunaku olwo lwali nga ewabwe lutuukira
mubiseera byakuwummula. Era mumbeera yemu nabakulisitaayo muntandikwa ye njiri
yabwe omusajja empula qudais ii (owokubiri) yayisa ekiragiro ekikugira wamu
nokugaana abajaasi okuwasa. Wabula kabona omusajja omukulisitaayo ayitibwa
valentino yawakanya ekiragiro ekyo era ye yalinga agatta abafumbo bannamaje
munkukutu oba mukyama,
Oluvanyuma lwekiseera omukulu (empula
qudais) amawulire gamutuukako nga kabona bweyali agatta abantu beyagaana
okuwasa, kabona yakwatibwa natwalibwa mumbuzi ekogga oluvanyuma jeyajjibwa
nassibwa kukalabba, wabula ngali mukkomera naye yagwa mumukwano nomwana owuwala
womu kubakuumi bekkomera eranga nakyo yakikola mububba kuba enzikiriza yabwe
egaana bafaaza ne bakabona okuwasa wadde okubeera mumukwano nabakyala.
Newankubadde gwali bwegutyo ebikolwa bye byali nga biraga nti yali musajja
mukulisitaayo ddala ekyo nga kirabikira mungeri jeyeekwatanga n'okunyerera
kubukulisitaayo empula qudais bweyamwanjulira okumusonyiwa olwokumenya
ekiragiro kye amale kuva mubukulisitaayo asinze bakatonda b'abalooma era
amufuule mukodomi we okwo saako n'okumusembeze kulusegere lwe. Wabula valentino
ebyo yabigaana era nasalawo okusigala nga mukulisitaayo ekijja kijje, era
bwatyo yassibwa kukalabba nga 14 /02 /270. Nga mukiro kya 15 /02 lwali lunaku
lw'abalooma lwe bakuzaanga. Okuva kwolwo olunaku luno lwatumibwa erinya
lya qudais.
wabula oluvanyuma lwokusaasana kwobukulisitaayo mu nsi zabulaaya olunaku
lwa nga 14 / 02. Buli mwaka lwafuuka nga lwelukulu era nebalutuuma oluvanyuma
lwa qudais ,valentines n'ekigendererwa eky'okuzza obujja okujjukiranga kabona oyo (valentino) kubanga mbu yasaddaaka omwoyo gwe
kulw'abakulisitaayo era n'alwanirira eddembe ly'abagalana ngabwebagamba.
ebyonno byebyafaayo oba jenvudde wolunaku lwabagalana mubufuunze, nga n'ekisinga
okukwasa ennaku kye kyokuba nti abavubuka abasiraamu bangi abawala nabalenze
babuzaabuzibwa nebeetaba mubikujjuko byalwo; olwokuba nga abasinga kubo
obukkiriza bwabwe ( imaan) butono atenga nabalala babigendamu lwabutamanya ate
abalala bambi tebafuna kubuulirirwa n'okuwabulwa kumala okuva eri bama sheikh
abalungamya nebafundikira nga balukuzizza. Tusaba Allah atutaase nabo abataase.
obubonero bwokukuza olunaku olwo.
obumu kububonero byokukuza olunaku lwabagalana, mulimu okwambala engoye
emyufu oba langi y'olugoye yonna endala jebaba balangiridde okukozesebwa nga
akabonero akakulu n'okusasaana kwebimuli byomukwano ebimyufu nokuwanyisiganya
obubaka obuyozayoza okulutuukako saako n'okwewereza ebirabo ebitali bimu ne
zikaada n'okuteekawo ebirabo eri abagalana abanasinga okwolesa omukwano, era
nga okujjukiza n'okwozayoza omukyala oba muganziwo kumakya g'olunaku olwo
mumbeera eyakajanja kamu kububonero obulaga omukwano ogwannamaddala oba
ogwekimmemmette, era nga oyo atayozayoza mukyala we oba muganziwe oba
naatamutonera kirabo kyonna atwalibwa okuba nga
atamanyi bya mukwano.
okulamula kw'obusiraamu kulunaku olwo.
abasiraamu tuteekedwa okukimanya nti okukuza
olunaku lw'abagalana (valentines day) kikyamu era kyaziyizibwa (kiri haraamu).
Era nga abamanyi baffe bonna begatta kukuwerebwa kw'okujaguza n'okukuzibwa
kwalwo.
obujulizi
obwesembesebwa mukuluwera.
obujulizi buno byebigambo by'omubaka
Nabbi Muhammad okusasira kwa Allah nemirembe bibeere kuye bweyasenguka naava
emakkah n'agenda emadinah naasanga abantu baayo nga balina ennaku biri munnaku
zebiseera byobutamanya ( jahiriyyah) nga
bazikuza nabagamba :
"إن الله قد
أبدلكم بهما خيرا منهما , يوم الأضحى ويم الفطر"
Nti ''mazima Allah abakyusirizzamu muzo ezisinga obuluungi, olunaku
lwa idd al adhuha ne idd al fitri ''omumanyi ayitibwa ibn hajar al asqalaan
yagamba nti mubigambo bya Nabbi Muhammad (s.a.w) ebyo tukenenulamu era
netufunamu nti tekukirizibwa kwongerako kukuza lunaku lulala lwonna oba okukuza
nokujaguza ennaku zaabo abagatta ku Allah nekintu ekirala wadde okubeefananyiriza, kubanga
ekyo kiba kugunjaawo nakuzuula mudiini yaffe.
ate ye sheikh ayitibwa abu hafswa alkabiir annafsi, (nga omu kubamanyi
ba madhihabu ga imaam abu haniifa)
yanyeza natti kunsonga eno nagamba nti ''oyo yenna atona ekintu kyonna, kakibe
nga kitono nga eggi lyenkoko eri abo abagatta ku Allah nekintu ekirala kulunaku
olwo mumbeera y'okulugulumiza nokuluwa ekitiibwa, aba akafuwalidde Allah.
era nga ebyo biri munda wekigambo kya Nabbi Muhammad (s.a.w) ekigamba
nti
" من تشبه بقوم
فهو منهم "
''Oyo yenna eyefaananyiriza ekibinja aba
wamukyo''. Okusinziira kwekyo fenga abasiraamu tetulina bwetaavu bwona
kwefanaanyiriza bagatta ku Allah nekintu ekirala mukukuza nokujaguza olunaku
lwabagalana wadde ennaku zaabwe endala ezigwa mukkowe eryo.
obusiraamu tebugaana kwagala kubanga bukuwa ekitiibwa era nga kulina
amakulu amaluungi. Omumanyi omu ayitibwa sheikh ibn qayyim al jauzi (Allah
amusaasire) yagamba nti '' olw'okwagala n'okwagalwa ensi eno neggulu
byatondebwa, era ebyo byombiriri bili mubutonde bwabantu, era nga yenamuziga
okutambulizibwa eggulu nensi n'ebirubirirwa byonna bitukibwako kulwabyo, era
nga bwebiyunga wakati wentandikwa y'ebintu n'enkomerero yabyo, era nga bigatta
wakati wemyoyo n'ebyetaago byagyo nebigendererwa, era nga by'ebiyunga emyoyo n'omulezi
wagyo eyagitonda (Allah), era
nga byebivirako okufuna obulamu obuluungi nokukombezebwa kubuwomerevu
bwobukkiriza (imaan), nokusiima Allah okuba omulezi wabwe n'obusiraamu okuba
eddini yabwe ne Nabbi Muhammad okuba
omubaka wa Allah jebali''.
era omwagalwa waffe, omubaka Muhammad (s.a.w) yali kyakulabirako
ekisinga obuluungi mumukwano. Era maama aisha muwala wa abubakar owamazima.(Allah yasiima kuye) atunyumiza nga Nabbi Muhammad (s.a.w) bweyatuukirizaanga
omukwano mungeri ey'olugenderezo eri maama khadija (Allah amusiime)
N'agamba nti '' safunako bujja kunnabi eri
bakyala be nga bwenafuna ku khadija, ate nga aisha yafumbirwa Nabbi nga
wayiseewo emyaka esatu oluvanyuma lwokufa kwa khadija, wabula ekyo ky'ava ku
birungi aisha byeyawuliranga nga Nabbi abyogera ku khadija nga oyinza okulowoza
nti khadija akyali mulamu, oba nti munsi temuli mukyala mulala atali ye , nga
Nabbi (s.a.w) ayinza okusala embuzi nawerezaako abenganda za khadija oba
mikwano gye, nga oluusi angamba munva ntekemu ku supu awerako asobole
okuweerezaako mikwano gya khadija. Ebyonno biraga nti newankubadde khadija yali
yafa naye omukwano nokwagala wakati wabwe tegwafa, okwonno kwe kwagala
okwanamaddala. Ebyonno byebimu kubyokulabirako byokwagala mubusiraamu.
ate bbo abatakiririza mu Allah
ebyabwe byewunyisa, diini ki jeboogerako era kwagala kwannaba ki kwebajaguza
nga bebalabe bembeera y'obuntu ate nga era balabe ba mitima gyambwe
jenyini?! Ebyalo bimeka byebasaanyizzawo
nokukuluusanya abantu, sente meka zebanyakudde saako n'okusaanyawo eby'obugagga
by'abantu?! Balumbagana abantu nga berimbise
mukisiikirize ky'eddembe ly'obuntu, era nebatta abatalina musango nga
berimbise mudiba lw'okubataasa n'okubanunula! Era
okwagala kuli luddawa eri oyo akola eby'okulanyisa binnamuzisa nawangalira
mukwonoona nga abigezesereza ku baddu abanafu nekunsi ezisinga okuba enjavu?
Akola ebyo yamanya ddi okwagala nga ayiwa omusaayi gw'abantu abatalina musango,
n'afuula abaana bamulekwa, nabakyala bannamwandu.
Okwo saako okuwamba naalumanya ne
salumanya, oyo atalina bwesigwa nabwesimbu ayinza atya okuba n'okwagala! Butya bwosubira omukwano myoyo atakuuma
nakutuukiriza ndagaano, era ddi abebitibwa lwebamanya nti eyeyisanga ensolo
zomunsiko wamubantu oba okusuubira timba okuzaala etali timba?!.
mazima abaabula nebweboogera ku kwagala ebikolobero byabwe bibaanika era
nebwebaguwaana batya nebaguwa ekitiibwa,
abasiraamu ffe tubasinga mwekyo.
ayagala okukasa ekyo funayo omukyala yenna kubawaangalira ebulaaya
omubuuze ku bulamu obwakazigizigi bwebawangaliramu, mazima bujudde obunyomoofu
nokukakkanayizibwa nokukozesebwa ebitaliimu nsa, tafuna kusaasirwa
kwannamaddala okuva eri bba, mwanyina oba ow'oluganda lwe wadde mutabani we,
singa tawaayo myoyo gwe talina amuwa, era bwatateteenkanya nyo kufuna byetaago
bye, awangalira mubuzibu obutagaambika, eddembe lyabwe elyannamaddala
lyasaabululwa, teriliiwo kuba amateeka agabafuga malyazaamanya era makyamu.
kale butya abo bwebayinza okutufunira omukwano bbo benyini gwe baalemwa okufuna??!!
Valentine's Day in Islam info in Ugandan Language | Olunaku lw'abagalana mubusiraamu
(Click Here) for more info.
Appeal:
thank you for reading, being a Muslim it is must to spread saying of prophet (peace be upon him) to each and every one for which will be rewarded both in this world and life hereafter.
0 Comments